Joshua 11

1 aAwo Yabini kabaka w’e Kazoli bwe yakimanya, n’atumya Yobabu kabaka w’e Madoni n’eri kabaka w’e Simuloni n’eri kabaka w’e Akusafu, 2 bne bakabaka abaali mu bukiikakkono mu nsi ey’ensozi, ne mu Alaba mu bukiikaddyo e Kinnerosi, ne mu nsenyi, ne mu nsozi ez’e Doli ku luuyi olw’ebugwanjuba. 3 cN’atumya Abakanani ebuvanjuba n’ebugwanjuba, n’Abamoli, n’Abakiiti n’Abaperezi, n’Abayebusi mu nsi ey’ensozi, n’Abakiivi wansi wa Kerumooni mu nsi ey’e Mizupa. 4 dNe bajja, n’amaggye gaabwe gonna, nga bangi nnyo nga bali ng’omusenyu gw’ennyanja, era ne bajja n’embalaasi nnyingi nnyo n’amagaali mangi nnyo. 5 eAwo bakabaka bano bonna ne beegatta ne bakuba olusiisira olwa awamu ku nzizi ez’e Meromu, balwanyise Isirayiri.

Olutalo lwe Meromu

6 fAwo Mukama n’agamba Yoswa nti, “Tobatya kubanga obudde nga bwe buti enkya nzija kubawaayo bonna eri Isirayiri, bafumitibwe, battibwe, embalaasi muziteme enteega n’amagaali gookebwe.”

7Awo Yoswa n’abalwanyi be bonna ne balumba abalabe ku nzizi ez’e Meromu. 8 gMukama n’abawaayo mu mukono gwa Isirayiri ne babawangula ne babagobera ddala, okubatuusa mu Sidoni ekinene ne ku Misurefosumayimu, ne ku kiwonvu kye Mizupa ebuvanjuba, ne babazikiririza ddala obutalekaawo n’omu. 9Yoswa n’abakolako nga Mukama bwe yamulagira, embalaasi zaabwe nazitema enteega, n’amagaali gaabwe n’agookya omuliro.

10Mu kiseera ekyo Yoswa n’addako emabega n’awamba Kazoli, kabaka waakyo n’amutta n’ekitala kubanga emabegako Kazoli kye kyali ekitebe ky’obwakabaka obwo bwonna. 11 hEra ne batta buli muntu yenna eyakirimu ne watasigalawo n’omu ne Kazoli n’akyokya omuliro.

12 iYoswa n’awamba ebibuga ebyo byonna ne bakabaka baabyo, n’abatta n’ebitala n’abazikiririza ddala nga Musa omuweereza wa Mukama bwe yalagira. 13Okuggyako Kazoli, ebibuga ebirala byonna ebyali bizimbiddwa ku bifunvu, Yoswa teyabyokya. 14 jAbaana ba Isirayiri ne beetwalira omunyago gwonna ogw’ebibuga bino n’ente, era ne batta buli muntu yenna ne babazikiriza awatali kusigala n’omu assa omukka. 15 kNga Mukama bwe yalagira omuddu we Musa, bw’atyo Musa bwe yalagira Yoswa era ne Yoswa bwe yakola; talina kye yaleka takoze ku byonna Mukama bye yalagira Musa.

16 lBw’atyo Yoswa n’awangula ensi yonna, n’ensi ey’ensozi n’ey’obugwanjuba yonna, n’ekitundu kya Goseni kyonna, ensi ey’ensenyi ne Alaba, n’ensi yaayo yonna ey’ensenyi. 17 mOkuva ku lusozi Kalaki, okulinnya okutuuka e Seyiri, n’okutuuka ku Baalugadi mu kiwonvu kya Lebanooni ekiri wansi w’olusozi Kerumooni ne bakabaka baayo bonna n’abawamba, n’abafumita, n’abatta. 18Yoswa n’alumba n’alwana ne bakabaka abo bonna okumala ebbanga. 19 nTewali kibuga kyakola ndagaano ya mirembe n’abaana ba Isirayiri okuggyako Abakiivi abaali mu Gibyoni; byonna baabilwanyisa ne babiwangula, 20 okubanga Katonda yennyini ye yakakanyaza emitima gyabwe balwane ne Isirayiri, alyoke abazikiririze ddala, abamalirewo ddala awatali kubakwatirwa kisa, nga Mukama bwe yalagira Musa.

21 pMu kiseera ekyo Yoswa n’agenda n’azikiriza n’amalawo Abanaki mu nsi ey’ensozi, mu Kebbulooni, ne mu Debiri, ne mu Anabu, ne mu nsi yonna ey’ensozi eya Yuda, ne mu nsi yonna ey’ensozi eya Isirayiri. Yoswa n’abazikiririza ddala, bonna n’ebibuga byabwe. 22 qTewali Banaki baasigalawo mu nsi y’abaana ba Isirayiri, okuggyako mu Gaza, ne mu Gaasi, ne mu Asudodi, mwe mwasigalako abamu. 23 rYoswa bw’atyo bwe yatwala ensi yonna nga Mukama bwe yalagira Musa, n’agiwa abaana ba Isirayiri okuba omugabo nga bwe yayawulibwa mu bika byabwe. Olwo ensi n’ewummula entalo.

Copyright information for LugEEEE